12/08/2023
Ekimu ku bintu bye njagala ku bulamu bw'ekyaalo y’engeri gye bukwataganamu n’enkola y’obutonde. Oyiga okusiima ebintu ebisinga obungi ebikwetoolodde, era tosobola kwewala kubimanya.
Buli kiwuka okimanyi amannya n’embeera zaakyo. Ekinyomo, ekikenembi, wakka, kaasa, munyeera, ejjenje, ekinyenyenkule, nkulungula bbi, sigga, namunkanga...
Ebinyonyi byonna obimanya amanya gaabyo, ennyimba (enkaaba) yaabyo, n’ekisu. Akataayi, omujjonkezi, namugala, enkwenge, magga, kayibamukukulu, enkazalujja, kamusungusungu, namunye, entalumbwa, akasanke, enkwaale...
Buli nsolo entono ebaliraanye obeera ogimanyi okusinziira ku ndabika yaayo, eddoboozi lyaayo, obuwufu, n’obusa bwaayo (oba empita-mbi). Akayozi, omusu, akatulume, akasimba, empeewo, n'endala nyingi...
Buli kimera ojja kukimanya amannya gaakyo, ettaka eddungi mwekikulira, n’omugaso gwaakyo. Ekiyondo, etteete, akayuukiyuuki, ekikokooma, akakansukansu, kamyu, omunyango, ekiserere, embubbu...
Osobola okulagula sizoni (embeera y'obudde, emyeezi oba ebiseera) ng’osoma entambula y’ebiwuka, ng’otunuulira ebinyonyi, n’ebimuli (ebimera). Ensanafu, enseenene, enswa, ...
Osobola okumanya enkuba bw’eneetonnya na ddi lw’eneetonnya ng’osoma empewo n’obunnyogovu. Nga ssaayansi ono y’engeri y’entambula y'obulamu, oyiga okwagala obutonde n’okukuuma buli kimu. Bino byonna bifa, nga mu kifo ky’okutegeera n’okulongoosa ku nsonga zaabyo, tugigoba nga tugayita ‘amaalo’.
Byawandiikibwa: Jimmy Spire Ssentongo.
Byavvuunulwa: Galikuwa KIMBOWA, mutabani wa Salim Musoke Ssenkungu , muzzukulu wa Juma Ssenkungu LUTAAYA Zizinga.
One of the things I like about village life is how it is integrated with the ecosystem. You learn to appreciate most of the things around you, and you can’t avoid knowing them.
You know each insect by name and ways. Ekinyomo, ekikenembi, wakka, kaasa, munyeera, ejjenje, ekinyenyenkule, nkulungula bbi, sigga, namunkanga...
You know all birds by name, song, and nest. Akataayi, omujjongozi, namugala, enkwenge, magga, kayibamukukulu, enkazalujja, kamusungusungu, namunye, entalumbwa, akasanke, enkwale...
You know every little animal around by appearance, sound, track, and droppings. Akayozi, omusu, akatulume, akasimba, empeewo, ...
You’ll know every plant by name, favorable soils, and utility. Ekiyondo, etteete, akayuukiyuuki, ekikokooma, akakansukansu, kamyu, omunyango, ekiserere, embubbu...
You can predict seasons by studying insect movements, watching birds and blooms. Ensanafu, ebiranga nsenene, nasse enswa, ...
You can tell as and when it will rain by studying winds and humidity. With this science as a way of life, you learn to love nature and protect everything. All this dies away when, instead of understanding and improving on its logic, we dismiss it as ‘backward’.
Source: Jimmy Spire Ssentongo.