
15/08/2025
Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku ddembe ly’abanoonyi b’obubudamu n’ababundabunda ekya United Nations High Commission for Refugees kidduukiridde Kampala Capital City Authority n’obuyambi bw’ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo obubalirirwamu ensimbi akawumbi kalamba n’obukadde lunaana babiwe abanoonyi b’obubudamu.
Mu buyambi buno mulimu ebitanda by’eddwaliro 100 n’emifaliso gyakwo, obuuma obukebera abakyala b’embuto 50, Digital X-ray, piki piki 5, laptop 5, tablets 64 ebitabo ebiwandiikibwamu 50,000 ebisabika by’abakyala n’ebirala.
Obuyambi buno bukwasiddwa Ssenkulu wa KCCA Hajjati Sharifa Buzeki ne Loodi mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago nebeeyama okubutuusa ku bebulina okutuukako n’okubukozesa obulungi.
Ebiwandiiko biraga nti mu Kampala mwokka mulimu abanoonyi b’obubudamu abasoba mu mitwalo 16.