10/10/2023
OKUSIIYIBWA N'ENDWADDE Z'OLUSUSU.
Olususu ky'ekitundu ku byenkizo ekisiinga obunene ku mubiri gwaffe.
Lumaamira omubiri gwonna okuva ku mutwe okutuuka ku kagere akanaswi.
Ssinga balukubaagako, luzitowa wakati wa kilo 3-4.
Olususu luno lirina emyaliiro 3:- Olwokungulu luno nga lujjude obwooya, kabuuyi wamu n'olwessavu.
Luyamba okukuuma ebitundu by'omubiri eby'omunda, okutetenkanya obunyogovu wamu n'ebbugumu omubiri byegwetaaga, okutambuza amawulire g'obusimu wamu n'okulongoosa obukyafu mu mubiri.
*Endwadde ezirumba olususu.*
- Zijjira mu biti 3:
1. Eziva ku mbeera eri ebweru w'omubiri. (External Environs.)
2. Eziva munda mu mubiri. (Internal)
3. Omubiri okwekolako obulabe. (Auto immune diseases. )
Ammanya agaweebwa endwadde zino kuliko; ssituka, embalabe (ez'amasiri n'ezobuti), ebikuyiro, enziro y'okumaaso, wayirindi, obuwere, ebirogologo, amayute, mulangira, namusuna, kawaali, kawumpuli, ebigenge, ebisente, oluwumu, ekibumba ekirwadde, omusaayi ogwononese n'obuwuka obusiiwa wansi.
Endwadde zino zireetebwa obuwuka obukukuza(fungal infections), obusirikitu (bacterial), n'obusirikitu obuteesobola(viruses).
Waliwo endwadde eziva ku mubiri okwekolako obulabe (auto immune diseases) nga oluusi ziva ku makerenda getumira, ebintu ebivaako obuwooo, byetulya ob'okunywa gatakko n'okukozesa amazzi agalimu obuwuka naddala ag'emigga n'enyanja.
ENZIJANJABA:-
1. Kikola amakulu, n'osooka okulaba omusawo omukugu w'ebyensusu. Kino kiyamba okuzuula wa obulwadde webuva okusobola okufuna ekinabujanjaba.
2. Twemanyiize okuba abayonjo mu maka, gyetusuula obubi, okunaaba mu ngalo n'omubiri, okwoza engoye n'amasuuka mwetusula. Obuwuka tebwagala wayonjo!
3. Teweyagula nnyo, naye funa akawero okaseeko mu tuzi otubuguma oyise awasiiwa. Buno butwale ng'obujanjabi obusooka.
*Erimu ku ddagala ly'obutonde eriwonya okusiiwa n'ezimu ku ndwadde z'ensusu mulimu:-* Ekigaji, Shea butter, Omwenyango omukazi, Kalirunsambulira, Embutamu, Ekiddo ky'enkoko, Ekerekedde, Kajjampuni, Engabo ya Ndawula, Eya Kawumpuli, Eya Muwanga, Kabamba maliba, Kabalira ku mugongo, Omuzayituuni, Ekinaasiya, Ebikoola bya Ovakedo, Ebibala ebyengedde naddala ebyakyenvu, n'ebirala.
EDDAGALA LINO NDIRINA NGA LIWEDDE OKUTEGEKA.
Call/WhatsApp 0703394763
©Kojja Sol
Bedroom Solutions
WhatsApp 0703394763